Isaiah 34:10-15

10 aTalizikizibwa emisana n’ekiro,
n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
11 bEkiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 cAbakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 dAmaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 eEnsolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 fEkiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
Copyright information for LugEEEE